Skip to content Skip to footer

Abasuubuzi bayimirizza akeediimo

traders tough 2

Abasuubuzi bannayuganda abagiddukanyiza mu ggwanga lya South Sudan basazizzaamu akeediimo kaabwe.

Kiddiridde ensisinkno gyebabaddemu n’aduumira poliisi Gen Kale Kaihura

Kaihura ategeezezza abasuubuzi bano nti gavumenti ebadde ekola ku nsong zaabwe lwakuba nti waliwo emisoso mingi.

Asabye n’abasuubuzi okwewala ebikola by’effujjo bulijjo basooke nga kuteesa

Abasuubuzi bano baali bateekateeka kwekalakaasa nga bagaala kusasulwa olw’emmaali yaabwe gyebafiirwa.

Abasuubuzi bano babanja obuwumbu 41

Leave a comment

0.0/5