Skip to content Skip to footer

Akamyufu ka NRM- Sematimba yeewandiisizza

Sematimba

Webuwungeredde ng’abantu babiri beebawandikiddwa  okwesogga akamyuufu ka NRM ku bwa loodimeeya.

Peter Ssematimba yeeyasoose okuwandiisibwa mu nteekateeka efundikirwa olunaku lw’enkya.

SSematimba agambye nti mwetegefu okuwereeza bannakampala awatali kubaboola

Ono addiddwaako Meddie Kasule agambye nti ekimuleese kulongoosa byabufuzi mu kampala.

Omulala ategerekese nga Pradeep Karia talabiseeko yadde ng’abadde yategeezezza nga bw’agenda okujja yewandiise

Akakiiko akalondesa katadde olunaku lwa nga 17 omwezi ogujja okulonderako loodimeeya omuggya.

Okulonda kuno kwawakanyiziddwa loodimeeya Erias Lukwago eyasabye nti kuyimirizibwe

N’abavuganya bakuzize nga DP ne FDC bategeezezza dda nga bwebatagenda kusimbawo bantu.

Leave a comment

0.0/5