Amawulire
Bigwabitalaze e Kyankwanzi
Abakulembeze mu disitulikiti ye Kyankwanzi batandise okukungaanya amannya g’abantu abakoseddwa enkuba mu kitundu kino
Olukakaka luno lugenda kusindikibwa eri minisitule y’ebigw abitalaze
Kiddiridde enkuba eyamaanyi okuleka amayumba mangi nga gali ku ttaka, ennimiro nga zisanyeewo n’ebisolo okufa era nga bangi tebalina webegeka luba
Omubaka omukyala ow’ekitundu kino Anne Maria Nankabirwa agamba nti bakafuna abantu 150 abakoseddwa era nga bamaze okutegeeza ab’ebigwabitalaze ekigenda mu maaso