Amawulire
Akabenje ku mazzi – baweze 107
Omuwendo gw’abantu abakanyululwa mu Nyanja ya Albert gutuuse ku107.
Aduumira poliisi y’oku mazzi, James Pola agamba nti abantu bonna abanyuluddwa olwaleero babadde bafu era ng’essuubi ly’okujjayo abalamu liweddewo
Ono agamba nti bagenda kukoma leero omuyiggo gwaabwe gugenda kukoma akadde konna.
Eyabadde avuga eryaato lino yakwatiddwa era ng’okunonyereza kugenda mu maaso.
Abasinga akabenje bakatadde ku kabindo
Ababadde ku lyaato lino babadde bannansi ba Congo ababadde badda ku butaka nga bava mu nkambi ya babundabunda e Hoima