Amawulire
Poliisi ezinzeeko leediyo- Nobert Mao akwatiddwa
Poliisi ezinzeeko leediyo ya Kasese Guide radio okukkakkana ng’esazeeko pulogulaamu ebaddeko.
Radio eno bagiranga kukyaaza Gen Mugisa muntu enkya yeleeo ng’ono abadde abangula bantu ku bwetaavu bw’enongesereza mu mateeka g’eby’okulonda
Mu ngeri yeemu era poliisi ekutte akulira ekibiina kya DP Nobert Mao bw’abadde yakatuuka ku lutindo olumanyiddwa nga Katungulu e Kasese.
Bino byonna bizze ng’abavuganya bateekateeka okukuba olukungaana e Kasese.
yye nno gen Mugisha Muntu agamba nti tewali kigenda ku balemesa kutuuka mu bantu nga bonna poliisi by’ekola bimenya mateeka.