Amawulire
Abasawo bakomewo
Kawefube w’okusikiriza abasawo bannayuganda abaddukira ebweru okudda ku butaka atandise.
Ababaka okuva mu palamenti y’amawanga ga Africa beebamuwomye omutwe okuyamba okwongeza ku basawo mu ggwanga.
Ababaka bano bagamba nti ensonga eno bagitegeezaako ne pulezidenti n’agiwagira nga kati okwogereza abasawo bano kwekugenda mu maaso.
Omu ku babaka mu palamenti eno, Onyango Kakoba agamba nti bamaze okwogerako n’basawo 20 abali mu ggwanga lya South Africa era nebabakakasa nti basobola okudda ssinga baba bakwatiddwa bulungi.
Yye omubaka Beatrice Rusania agamba nti bakuddamu okusisinkana pulezidenti nga bali n’abasawo bano okwongera okwogera.