Amawulire

Gavumenti eremedde ku mikutu gy’amawulire

Ali Mivule

April 4th, 2014

No comments

dembe logo

Akakiiko akafuga ebiwerezebwa ku mpewo kazzeemu okujjukiza eb’emikutu gy’amawulire okussa ekitiibwa mu biragiro bya gavumenti.

Gavumenti eyagala eweebwa akadde ku buli leediyo ne TV ku bwereere okutegeeza abantu by’ekola kyokka nga kino ab’emikutu bakiwakanya.

Ekiwandiiko okuva mu kakiiko akafuga eby’oku mpewo kijjukizza ab’emikutu nti kibakakatako okutegeeza abantu gavumenti by’ekola kyokka nga kino kisoboka ssinga gavumenti eweebwa obudde ku mikutu

Kati emikutu gino gilagiddwa gyalagirwa okutegeeza gavumenti olunaku n’essaawa kino lwebanakissa mu nkola obutasussa nga munaana omwezi guno.