Bya Ritah Kemigisa
Abakugu mu byentambula eyomu bbanga bawabaudde nti obubenje bwe nnyonyi busobola okwewalika, ssinga abagoba be nnyonyi bagoberera emitendera gyonna gyebateddwa, nga tebanasitula.
Okusinziira ku Rtd captain Steven Wegoye, pilota alina obuyinza okugaana okubuusa enyonyi ssinga, abakaugu bebaeera tebanagyekebejja, bulungi.
Bino abyesigamizza nnyinyi ya Ethiopian Airline kika kya Boeing737, eyagaudde netta abantu 157, dakiika 6 zokka bweyabadde yakasitula, ngeyolekera mu kibuga Nairobi.
Kati Wegoye agamba nti embeera eno yabadde esobola aokwewalika, ssinga wabaddewo obwegndereza obumala.