Bya Abubaker Kirunda
Waliwo abakungu 3 mu district ye Jinja abakwatiddwa, ku bigambibwa nti benyigira amu kulya enguzi.
Bano bakwatiddwa akakiiko akava amu maka gobwa presidenti, akalwanyisa enguzi, akakulemberwa Lt Col Edith Nakalema.
Abakwate kuliko omumyuka wa town clerk owa Kakira Town Council Devis Gulare, Peter Mulavu omubazi webitabo ne Fred Kisige engineer wa Bugembe Town Council.
Omu ku bakulira ebyamawulire mu maka gobwa presidenti Farouk Kirunda agambye nti bano, baafuna ensimbi okuva amu gavumenti, wabula nebatakola mirimu gyebatekeddwa, nawamu nebakola gandibe ngalye.
Kati Kirunda anokoddeyo lufula ye Bugembe, nti baajikola bubi, ngensimbi ezisigadde balabka baziteeka aku mimwa.