Bya Ruth Anderah
Omusajja owemyaka 26, kooti enkulu mu Kampala emuwadde ekibonerezo kyakukola busibe mu kkomera e Luzira okumala emyaka 10 lwakusobya ku mwana omuwala ow’emyaka 7 gyoka.
Mafabi Vincent asibiddwa omulamuzi Vincent Okwanga, oluvanyuma lwa ye kenyini okukiriza omusango.
Mafabi omusango yaguzza nga July 6th 2016 ku kyalo Kinawataka mu division ye Nakawa mu Kampala.
Ono yakakana ku mwana wa muliranwa we namusobyako maama we bweyali egenze okusula mu lumbe olwali ku muliraano.