Bya Shamim Nateebwa
Omusajja atemyetemye kitaawe lwakumugaana, okutunda ettaka ly’ekiggya.
Lawrance Walugondo owemyaka 60 yanyigga ebiwundu oluvanyuma lwa mutabani we Henry Lukenge omutuuze we Kikindu mu gombolola y’e Ssingo mu disitulikiti y’e Mityana okumutematema.
Walugondo mu kiseera kino, ngajjanjabibwa ku ddwaliro e Mulago agamba nti aludde ng’agugulana ne Lukenge ku nsonga z’ettaka, nga baazitwalako neku LC.