Bya Magembe Sabiiti
Amaka agasoba mu 2000 mu disitulikiti ye Kakumiro, tegasigazza kantu oluvanyuma lw’enkuba namutikwa etonye mu kiro ekikesezza olwaleero.
Enkuba eno ebademu kibuyaga owamanyi n’omuzira, ngesudde amayumba nesanyawo nebirime.
Enkuba eno esinze kukosa abatuuze mu gombolola 7 okuli Nkooko, Mpasaana, Kibijjo, Kasambya, Bwanswa nendala.
Kati omubaka omukyala owa district ye Kakumiro, Nnabbanja Robina akubidde gavumenti omulanga, nagamba nti mu kiseera abantu bali mu mbeera mbi, nga betaaga aobuyambi.