Amawulire
Aba FDC bagala okuwandiisa abantu kuyimirizibwe
Waliwo ekibinja ky’abavubuka b’ekibiina kya FDC abasazeewo okugenda mu kooti nga bawakanya okuwandiisa abantu okufuna endaga Muntu okugenda maaso mu ggwanga.
Bano bawakanya ekya ba ssentebe b’ekyalo okuteekebwa ku bukiiko obuwandiisa abantu nga bagamba nti buliwo mu bukyamu era tebwesigika.
Bano bagamba nti ebikwatagana ku batuuze tebisaanye kusalibwaawo ba ssentebe ba byalo kubanga obuvunanyizibwa buno buli mu mikono gy’ekitongole ekivunanyizibwa ku bantu abayingira n’okufuluma eggwanga saako n’okuba nti batuuze.
Abavubuka bano nga bakulembeddwamu Robert Mayanja era bawakanya eky’okuwandiisa ab’emyaka 16 nga bagamba nti ssemateeka alagira emyaka 18 okuba omuntu nga akuze oba okufuna endagamuntu.
Mayanja akalambidde nti baagala okwewandiisa kuno kuyimirizibwe okutuusa ng’okwemulugunya kwonna kukoleddwako.