Amawulire
Ono abadde ku ddagala naye nga talina siriimu
Omusajja amaze emyaka 15 ng’amira eddagala eriweweeza ku mukenenya addukidde mu kkooti oluvanyuma lw’okukizuula nti talina bulwadde buno
Zabron Hategeka yekebeza obulwadde bwa siriimu mu mwaka gwa 1999 era ab’akalwaaliro ka Adventist medical Centre nebamutegeeza nti yalina siriimu
Bamusindika mu ddwaliro e Rubaga nayo abamukebera era nebamuteerawo ku ddagala
Wabula mwezi ogw’okubiri mu mwaka guno, omusajja ono yazzeeyo mu kyuuma okwekebeza nga talina mukenenya
Omusajja ono kati awaabye ab’eddwaliro lye Rubaga n’akalwaliro kano aka Adventist medical center ng;’ayagala kuliyirirwa olw’obulumi bw’ayiseemu emyaka gino gyonna ng’aboolebwa.
Omusajja ono agamba nti yatuuka nokufirwa omulimu gwe okwo kw’ossa n’okumira eddagala lya buli lunaku n’atuuka n’okuggwaamu essuubi.
Ab’amalwairo gano bawereddwa ennaku 15 okwewozaako