Amawulire
Pulezidenti Museveni akunze ku Luweero
Pulezidenti museveni asabye bannakibiina kya NRM okwegatta ekifo kye Luweero bwekiba nga kyakusigala nga kyaabwe
Kiddiridde bannakibiina kya NRM abalala basatu okuwera nga bwebagenda okwesimbawo ku lwaabwe nga bawakanya eky’okuyisaamu Rebecca Nalwanga nga tavuganyiziddwa.
Ono agamba nti okutwaala ekibiina mu maaso kyetaaga kwerekereza abalala okusimba mu mugongo gwa Nalwanga
Ono era asabye abalonzi okulonda abakulembeze abanawagira enteekateeka za gavumenti eggwnaga bweriba nga linaakula
Pulezidenti okwogera bino abadde ayogerako eri abakulembeze ba NRM ku kitebe ky’obusumba bwe Kasaana