Amawulire
Uganda yerinze abatujju
Oluvanyuma lw’abantu 4 okufiira mu bulumbaganyi bw’obutujju mu ggwanga lya Kenya ku wiikendi, ebitongole by’ebyokwerinda byongeddemu amaanyi mu by’okwerinda.
Ku lwomukaaga bomu ya grenade yategeddwa ku mwalo e Mombasa kumpi ne hotel emu nga 15 bbo babuuse n’ebisago ebyamanyi.
Kati omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba bongedde okulawuna ebitundu ebitali bimu nga abantu basabiddwa okwongera okubeera obulindaala.
Nga abatujju bakyawera okulumba Uganda, ab’obuyinza mu district ye Namayingo bongedde okunyweza eby’okwerinda okwewala abasala ensalo okwesogga eggwanga mu bukyamu.
Ebitundu 80% mu district ye byetoloddwa mazzi kale nga kibeera kyangu abangwira okuva e Kenya ne Tanzania okwesogga Uganda.
RDC wa district eno era nga yakulita akakiiko k’ebyokwerinda Mpimbaza Ashaka agamba nti kati bongedde ku balawuna ku mazzi okukwata abo abayingira Uganda nga tebakiriziddwa okwewala abatujju okukozesa emiwatwa gyino okulumba eggwanga.