Amawulire
Abavubuka ba NRM bakkiriziganyizza
Abavubuka abatalina kambugu mu kibiina kya NRM bongedde okusisinkana pulezidenti museveni era nga bakkiriziganyizza okugira nga bayimiriza ttabamiruka buli omu gw’ategese.
Kiddiridde abavubuka bano buli omu okutegeka enkiiko ng’abamu bateekateeka kuyisaamu Amama Mbabazi ng’omukwasi wa Bendera yaabwe ate abalala nga balinze kuyisaawo pulezidenti museveni.
Olunaku olw’eggulo abavubuka basatu bawummuziddwa ku bukulembeze era n’ababaka ba palamenti ab’abavubuka 4 abagambibwa okwawuula mu bavubuka nebategeezebwa nga bwebagenda okukangavvulwa.
Amyuka ssentebe w’abavubuka ba NRM wano mu Kampala Adam Luzindana agamba omukulembeze w’eggwanga abatabaganyizza kyoka ng’enkiiko endala zakutuula
Abavubuka bano baludde nga balwana bukyanga ababaka mu palamenti basalawo nti pulezidenti Museveni yesimbewo yekka.