Bya Abubaker Kirunda
Poliisi e Jinja ekakasizza okukwatibwa kwabantu 11, ababade bagezaako okugotaanya okulonda kwa Jinja East.
Omwogezi wa poliisi mu Kiira Dianah Nandaula, ategezeza nti bano babade bagezaako okutataganya okulonda.
Bano bakwatiddwa okuva ku byalo ebyenjawulo, nga katiJ bakumibwa ku CPS e Jinja.
Poliisi eamba nti bagenda kuggulwako gwa kugotaanya kulonda, okubba akalulu nokwonoona ebintu mu bigenderevu.
Abantu 8 bebali mu lwokaano, okuli owa NRM Nathan Igeme Nabeta nowa FDC Paul Mwiru, ngesaawa emu okuva kati okulonda kugenda kukomekerzebwa.
Akulira ebyokulonda e Jinja Rogers Sserunjogi gyebuvuddeko yasubizza nti omuwanguzi wakulangirirwa ssaawa 4 ezekiro.