Akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga lya Burundi kataddewo nga 15 omwezi ogujja okulonda omukulembeze w’eggwanga mu ggwanga lino.
Kinajukirwa nti abakulembeze b’amawanga ga Africa bazze basaba okulonda kwongezebweyo wakiri okumala weeki 6, kyoka kino tekinasoboka.
Okulonda kuno kwalina okubeerawo nga 26 omwezi guno, kati kutereddwa nga 15 omwezi ogujja.
Bo banansi ba Burundi bakyagenda mu maaso n’okwekalakasa ngabawakanya ekya President Pierre Nkurunziza okulangirira ngabwagenda okwesimbawo ekisanja ekyokusatu.
