Skip to content Skip to footer

Yasobya ku mwana n’amusiiga ssiriimu

Bya Ruth Amderah

Omusajja ow’emyaka makumi 30 asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala, wabula neyegaana okunywesa omwana omuwala ow’emyaka 13 waragi namusobyako ng’ate alina akawuka ka mukenenya .

Kasule James bwabadde alabiseko mu kooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Elizabeth Kabanda yegaanyi okusobya ku mwana oyo newankubadde ategezezza nti yali amumanyi.

Wabula oludda oluwaabi lugamba nga September 11th 2016 E Mutundwe mu Kabaawo zone, Kasule yanywesa omwana ono coffee waragi namusobyako bweyali agenze okulaba TV.

Kkooti ekitegedeko nti omwana eyasobezebwako era yamusiiga akawuka ka mukenenya, nga yali asoma ku St. Lawrence

Leave a comment

0.0/5