Bya Shamim Nateebwa
Pollisi e Bulenga etandise okunonyereza ku muzigu agenda mu maduuka gabasuubuzi nababba emisana ttuku.
Kitegezeddwa nti ono azze akwatibwa ku ntabi za kkamera enfunda eziwerako.
Ono kigambibwa nti agenda mu maduuka gabasuubuzi mu biseera ebyemisana nayingira, awali seefu nabalako ensimbi zayagala oluvanyuma nafuluma.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire akakasizza obubbi obwekikula kino, nategeeza ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.
Obubbi nga buno buzze bubeerawo enfunda eziwerako mu bitundu bye gwanga ebyebyenjawulo.