Skip to content Skip to footer

Sheikh Ndirangwa ye Supreme Mufti

File Photo:Ndirangwa eyalondewa ku bwa Mufti
File Photo:Ndirangwa eyalondewa ku bwa Mufti

Sheikh Silman Kasule Ndirangwa ye supreme mufti wa Uganda omuggya

Sheikh Ndirangwa alondeddwa olukiiko lwa ba maseeka olutudde olunaku lwaleero.

Ndirangwa azze mu bigere bya Shiekk Zubair Kayongo eyafa mu gw’okuna gw’omwaka guno.

Sheikh Ndirangwa wakumyukibwa Sheikh Mohmoud Kibaate ne  Sheikh Habiib Kabasa.

Yye Hajji Muhammad Kisambira y’amyuka ssentebe omuggya

Bino birangiriddwa Sheikh Annas Kaliisa

Ng’amaze okulangirirwa, Sheikh Ndirangwa yeebazizza abamusizzaamu obwesige n’asaba abayisiraamu okwegatta.

Ono wabula agamba nti ensonga enkulu egenda kuba kulwanirira maali ya busiraamu n’obwenkanya

Leave a comment

0.0/5