Skip to content Skip to footer

Disitulikiti empya zijja- Museveni

File Photo:Museveni nga yogeerako eri abantu
File Photo:Museveni nga yogeerako eri abantu

Pulezidenti Museveni asuubizza okutondawo disitulikiti endala empya mu mwaka 2017 ssinga addamu okulya entebe.

Ng’ayogerako eri abantu be Manafwa, Museveni agambye nti wakujjawo nnati gyeyalangirira nti teri kuddamu kutondawo disitulikiti mpya

Mu mwaka gwa 2013, gavumenti yassa ekkomo ku kutondawo disitulikiti empya lwa nsonga ya nsimbi

Wabula museveni agambye abe Manafa wakubongera disitulikiti anatuumibwa Namisidwa

Akakiiko ka palamenti akakola ku gavumenti z’ebitundu kaali kasaba nti disitulikiti endala okuli Wakiso, Kibaale, Kabale, Arua ne Kasese zikutulweemu kubanga nnene nnyo.

Leave a comment

0.0/5