Poliisi y’ebidduka wano mu Kampala ekyagenda mu maaso n’okukwata emmotoka ziganyegenya n’abavuga nga tebalina pamiti nga ennaku enkulu zisemberera.
Olunaku lw’eggulo bangi baagudde mu kitimba nga n’abamu baasangiddwa nga baakubwa engasi olw’emisango gyokunguudo wabula nebatasasula.
Kati aduumira poliisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano Norman Musinga agamba olwaleero bakuyigga ababodaboda abatalina bisanyizi kuvuga pikipiki naddala e Kibuye ne ku nkulungo z’omukampala ez’enjawulo.
Wiiki eno akulira poliisi y’ebidduka mu ggwanga Steven Kasiima yalagidde abaduumira poliisi z’ebidduka bonna okukola ebikwekweto nga bino oba ssi kyo bagobwe ku mirimu.
