Skip to content Skip to footer

Owa 23 yasobya ku mwanyina ow’emyaka 6

Bya Ruth Anderah

Omuvubuka owemyaka 23 avunaniddwa, noluvanyuma nebamusindika ku alimanda e Luzira, olwokusobya ku mwanyina owemyaka 6.

Kasule Patrick asimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti enkulu mu Elizabeth Kabanda, wabula neyegaana omusango ogumusomeddwa.

Kasule ategezezza kooti nti bamuwayiriza, era zino mpalana eziva ku maama we Jane Nakawooya ayagala okubba ettaka lya kitaabwe omugenzi.

Wabula oludda oluwaabi lugamba nti omuvunanwa nga 4th  September mu 2018 ku kyalo Jjagala mu district ye Wakiso ku ssaawa nga 1 eyakawungeezi yasoberera kato ke nakamalirako ejjakirizi.

Leave a comment

0.0/5