Bya Shamim Nateebwa
Obwakabaka bwa Buganda bugamba nti bwakukolagana ne banabyabufuuzi bokka abategera ensonga zobwakabaka.
Okusinzirra katikiiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abavvoola obwakabaka bali mu butamanya, kubanga tebamanyi kitufu na kikyamu.
Owembuga okwogeera bino abadde asisinkanye Ssempala Kigozi omubaka we Makindye Ssaabagabo mu office ya Katikkiro ku Bulange okumwebazza emirimu gyakolera obuganda.
Yye Ssempala Kigozi awezze okusigala ngawwereza obwakabaka awatali kubutitirira.