Bya Ndaye Moses.
Ebibiina by’obwanakyewa bisabye government okujja licence ku bizinesi zonna ezimenya amateeka ag’okufuweeta taaba.
Twogedeko naakulira ekibiina ekya Uganda National health consumers organization Robinah Kaitiritimba n’agamba nti naddala amaduuka gakyagenda mu maaso n’okutunda sigala newankubadde bakimanyidde dala nti tebakirizibwa kutunda munwe munwe.
Ono agamba nti okusinziira kukunonyereza kwebakakola wano mu kampala kulaze nga amaduuka ebitundu 90% bwebakyatunda eminwe , kale nga bano beetaga kuggaala.
