Bya samuel ssebuliba.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda Justice Simon Byabakama akakasiza nga okulonda kwe Jinja bwekukyatambudde obulungi newankubadde waliwo ebirumira, nadala e masese ewagambibwa okubeera abakwatiddwa n’obululu obugolole.
Bwabade ayogerako ne banamawulire wali e Jinja Byabakama agambye nti kituufu okulonda kugootanyiziddwa enkuba eyamaanyi ebadde etonya, wabula nga kino tekigenda kulemesa ntekateeka zonna.
Mungeri yeemu ono agambye nti agenda kusigala nga yetegereza bwekinaaba kyetagisa okwongerayo okulonda bakukirowoozako nga akadde katuuse.
Wabula ye omu kubavuganya mu kulonda kuno Paul Mwiru akyalemedeko nga agamba nti waliwo abaakutte mu kaluluke.

