Ebyobulamu

Abasajja abekebeza beeyongedde

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

men testing

Ng’okukwekwenya abasajja okwekebeza kugenda mu maaso, okunonyereza kulaga nti abasajja abeekebeza ennaku zino beeyongedde

Akola ku kuziyiza ekirwadde kino mu kakiiko akalwanyisa mukenenya Betty Nabukeera agamba nti basaawo enkambi z’abasajja ez’enjawulo era ng’abasajja bangi bajjumbidde ddala ba dereeva ba biloole

Nabukeera akitadde ku kusomesa abantu okuliwo nga kati abantu bakimanyi nti kirungi okwekebeza

Mu kaseera kano abasajja abaweza ebitundu 7 ku kikumi beebalina obulwadde bwa mukenenya nga beebantu ng’akakadde kamu mu emitwalo 40.

Ku bano , emitwaalo 19 baana