Omubaka akiikirira abantu be Bujumba mu disitulikiti ye Kalangala Fred Badda alaze obwenyamivu olw’obulwadde bwa mukenenya obukyaali waggulu mu kitundu kye
Omubaka okwenyamira akulaze akyaddeko ku kalwaliro ka Health center 4 e Kalangala gy’alaze okugaba bulangiti n’ebikozesebwa abasawo ebirala
Badda agamba nti yadde abasawo ne bannakyeewa bakoze ekimala okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu obulwadde buno, abantu kirabika amatu bagaggadde
Ono nno akitadde ku be kalangala okubeera nga batambulatambula ku bizinga ebitali bimu.
Yye atwala eddwaliro lino Dr. Hillary Bitakalamire agamba nti kati abantu abalina obulwadde bwa Mukenenya e Kalangala baweza ebitundu 17.5 ku kikumi ate ng’awamu gutuuka ne ku bitundu 25%
Bitakaamire agamba nti omuwendo guno guli waggulu.
