Bannasayansi okuva mu Bungereza basemberedde okutuuka kun kola entangaavu enabayamba okukebera abantu obulwadde bw’okuwutta
Okunonyereza okukoleddwa ku bantu abasoba mu kikumi kulaga nti abasawo basobola okumanya oba omuntu atandise okuwutta nga batunuulira ekirungo kya Protein ky’alina mu mubiri gwe
Ebizuuliddwa abasawo bagamba nti byakubayamba okumanya engeri y’okukwatamu abantu abalina ekizibu kino nandiki n’engeri y’okukyewalamu
Wabula abakugu bano bagamba nti enkola eno tennatuuka kukozesebwa basawo mu malwaliro kubanga bakyagyetegereza
Wabula abasawo bangi beemulugunya nti ekyamangu kirina okukolebwa okumanya engeri y’okuyambamu abantu abalina ekirwadde kino nga bukyaali.
