Skip to content Skip to footer

Eddwaliro lya kokoolo

Cancer institute

Ssabaduumizi wa poliisi y’eggwanga  Gen Kale Kaihura atongozezza omulimo  ow’okuzimba ekifo kya poliisi  gagadde omunajjanjabirwa abalian ekirwadde kya kokoolo.

Ekifo kino kyakuzimbibwa ekitongole kya poliisi era nga lijja kuggwa mu myezi mukaaga.

Kaihura agambye nti eddwaliro lino lijja kuba n’obusobozi obujjanjaba abantu kikumi omulundi gumu era ng’abasirikale n’abantu ba bulijjo bakukolebwaako.

Omusawo wa poliisi Dr Moses Byaruhanga agamba nti eddwaliro lino lyakuyamba nnyo okukendeeza omujjuzo mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

Bino ebyogeredde ku mukolo gw’okutema evvuunike ly’okuzimba eddwaliro lino e Kololo

Leave a comment

0.0/5