Skip to content Skip to footer

Omwana eyabulira e Mulago-Kkooti ebalagidde okuteesa

Mulago mortuary

Kkooti enkulu mu kampala ewadde abe Mulago omukisa ogusembayo okuteesa n’abazadde ababulwaako omwana waabwe.

Bano balina okukola kino obutasukka nga 29 omwezi guno nga ssinga bagaana omusango gwakutandika okuwulirwa mu kkooti.

Kigambibwa nti Jennifer Musimenta ne bba Michael Mubangizi babulwaako omwana waabwe mu ddwaliro e Mulago mu ngeri etategerekeka

Bano bagamba nti bazaala abaana nga balongo nebabagamba nti omulala afudde kyokka nga bwebabasaba omulambo ogugusumulula nga ssi gwaabwe

Bano bagaala eddwaliro lye Mulago libawe omwana waabwe oba libaliyirire olw’obulumi bwebayiseeko

Mu musango guno bayambibwaako bannakyeewa mu byobulamu

Leave a comment

0.0/5