Ba naasi okuva mu ddwaliro e Mulago beekubidde enduulu eri palamenti nga bawakanya eky’okugobwa mu mayumba g’abasawo
Nga bakulembeddwamu Rose Naafa, ba naasi bano bagamba nti kikyaamu okubagoba okuva mu mayumba gano nga tebabawadde na webadda
Abasawo bano nno basonze mu bakulu ku ddwaliro e Mulago beebagamba nti abayumba gaabwe bagaala kugassaamu kifo awasula abayiga obusawo kubanga bakubafunamu ssente
Akulira akakiiko akakola ku byobulamu bano gyebaddukidde Kenneth Omona asuubizza okukola ku nsonga yaabwe yadde nga gavumenti etegeezezza nga bw’etabimanyiiko
Wabula yye akulira eddwaliro lye Mulago Baterana Byarugaba agamba nti enteekateeka eno yakolebwa dda era nga tegenda kusazibwaamu.