Skip to content Skip to footer

Gavumenti yakwongera ku basawo

Doctors

Gavumenti etaddewo obuwumbi 30 ez’okuyamba okwongera ku muwendo gw’abasawo mu malwaliro gaayo.

Omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago agamba nti minisitule ekola ku by’ensimbi yamaze dda okuyisaamu ensimbi zino.

Lukwago agamba nti abakozi abalala 600 wansi w’ensawo ya Global Fund beebagenda era okuyambako .

Ono agamba nti era mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja, bakuzimba amayumba g’abasawo okulaba nti bakendeeza ku ky’abasawo aboosa olw’okutindigga engendo okutuuka gyebakolera

Leave a comment

0.0/5