Amawulire

Okulwana e South Sudan- abasuubuzi balabuddwa

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

Juba 2

Abasuubuzi abaddukanyiza egyaabwe mu ggwanga lya South sudan balabuddwa obutasukka kibuga Juba

Kiddiridde gavumenti y’eggwanga lino n’abayekeera okuvvoola endagaano y’okussa wansi emmundu nebaddamu buto okulwana.

Akulira omukago gwa bannayuganda abakolera mu ggwanga lya South Sudan, Rashid Manafwa ategeezezza nti embeera ekyaali nzibu mu bibuga bingi era nga bannayuganda basaanye okwewala okukolera mu bibuga ebitali bimu.

Manafwa agamba nti Juba erimu amaggye ga UPDF mangi nga gasobola okubakuuma okwawukanako ne mu bibuga ebirala.