Amawulire

Katikkiro afulumizza embalirira ku ttofaali

Ali Mivule

May 19th, 2014

No comments

Buganda Lukiiko 1

Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga afulumizze enyingiza kko n’enfulumya y’ensimbi z’azze akungaanya mu kawefube wokuzzaawo amasiro gonna kko nekizimbe ekigya ekya Masengere.

Bw’abadde ayogerako eri olukiiko olutudde leero, Katikiro agambye nti obuwumbi busatu mu obukadde 127 bwebwakagenda mu nsawo ya Buganda okuva mu makubo ag’enjawulo okuli n’etofaali ly’azze akungaanya,songa obuwumbi 3 abantu babweteema nga balindiridde kusasula.

Katikiro ategeezza nti mu kaseera kano akawumbi kamu mu obukadde 800 zeezakakozeseba mu kuzzaawo amasiro e Kasubi ne Nabulagala nga wasigadde akawumbi kamu mu obukadde bibiri. 

Mu ngeri yeemu era Katikkiro ategeezezza ngamasiro gano bwegagenda okussibwaamu amasanyalaze ga Solar okwewala ebibamba ng’emiriro Obuganda bumaze okukolagana ne Kkampuni emu okuva mu ggwana lya Belguim okukola kino