Bya Prossy Kisakye, Omumyuka wa Speaker Jacob Oulanya anenyezza nyo ekitongole kya mawanga amagatte ekikola kunsonga zabanonyi bobubudamo olw’okulagajalira omulimu gwabwe ne batawangira mawanga agalabirira bantu bano.
Bino abyogeredde mu kufulumya alipoota eraga omugugu disitulikiti omuli abanonyi b’obubudamo gwe basanga mu kampala.
Oulanya ategezezza nga ekitongole kyamawanga magatte ekya UN Refugee Agency bwekilagajalidde omulimu gwakyo mu ggwanga lino ekivirideeko Uganda okwetika omugugu gwokulabirira abanonyi bobubudamo yokka songa nayo si yeeri obulungi enyo.
Uganda mu kiseera kino erina abanonyi bobubudamo akakadde kamu ne kitundu nga ku bano ebitundu – 60% baana bato, ebitundu 52% bakyala n’abaana ab’obuwala, nga bakadde bakoola ebitundu 3%.