
Nga pulezidenti Museveni ateekateeka okugenda okutongoza kampeyini ze e Luweero, ab’ekibiina kya NRM bategezezza nga essira bwebagenda okusinga okuliteeka ku by’obulimi, amakolero ssaako n’okwongera okutonderawo bannayuganda emirimu.
Bino pulezidenti abyogedde agulawo ekifo webagenda okukwasangayiza kampeyini z’abakwatidde bendera ku bwapulezidenti .
Ekifo kino kyakuddukanyizibwa abantu 150 nga era kyakukola essaawa 24 nga era bakufuna okwemulugunya okuva mu bannayuganda ku kampeyini zino.
Museveni ategezezza nga gavumenti bwetasobola ku bintu byonna omulundi gumu kale nga balina okusooka okulondamu ebimu.
Agambye nti ekibiina kya NRM kitaddewo enteekateeka eyamanyi okulaba nga eyongera okutumbula ebyenguudo wamu n’okubunyisa amasanyalaze mu byalo.
Pulezidenti Museveni era asekeredde abamuvuganya nti baleke kulimba bannayuganda kubanga tebalina kipya kyebayinza kubawa.
Ye amyuka omwogezi w’ekibiina kya NRM Ofwono Opondo agamba kino pulezidenti ky’aguddewo kyakubayamba okusigala ku mulamwa okuwa bannayunada kyenyini kyebaagala.