
Ssabawandiisi w’ekibiina ky’amawanga amagatte Ban Ki Moon avumiridde ekitta bantu ekikyagenda mu maaso mu ggwanga lya Burundi .
Ki Moon ategezezza nga bwebagezezzaako okutabaganya enzuyi ezilwanagana naye bikyaganye kale nga bwebategendeza embeera yandifuuka nga eyali mu ggwanga lya Rwanda mu 1994.
Ye omukulembeze w’eggwanga lya Burundi Pierre Nkurunziza ayisizza okulabula eri bamukwata mundu bonna okussa wansi ebyokulwanyisa wiiki eno nga tannabalumba.
Bamukwata mundu bawakanya ekisanja kya pulezidenti Nkurunziza ekyokusatu kyeyalya.