
Kampeyini z’okunonya akalulu kobwa pulezidenti zeyongeddemu ebugumu.
E Masaka abawagizi b’eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi batadise okutuuka ku kisaawe kya Golf okulindirira omuntu waabwe.
Wabula bano bemulugunya ku bipande bya Mbabazi ebyatimbuddwayo.
E Rukungiri ebbugumu lyeyongedde nga abaayo balindirira akwatidde ekibiina kya FDC Bendera ku bwa pulezidenti.
Abawagizi bangi beyiye dda mu kibuga wakati bayisa bivvulu nga balindirira Dr Kiiza Besigye okutuuka ku ssaawa nga ttaano bamulage esanyu.
E Kaliro eyesimbyewo nga talina kibiina Maureen Kyalya Walube gy’atandikidde.
Kyalya asookedde mu lubiri lwa kyabazinga okufuna omukisa
Eyesimbyewo ku lulwe Maj Gen Benon Biraaro yemulugunya nti obudde obwabawereddwa okunonya akalulu tebumala.
Biraaro agamba etteeka erilungamya enkungaana likugidde nyo ab’oludda oluvuganya gavumenti okutalaaga eggwanga sso nga ye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni y’atandika dda kampeyini.