Amawulire
Luweero- Ebikozesebwa bituuse
Akakiiko k’ebyokulonda kamalirizza okusindika ebinakozesebwa mu kuddamu okulonda omubaka omukyala owa district ye Luweero.
Ssentebe w’akakiiko kano Badru Kigundu agamba nti bino byonna byakukuumibwa poliisi nga tebinawerezebwa mu magombolola ewagenda okulonderwa.
Kigundu ategezezza nga bwebalongosezza enkalala zonna nga kati basubira abalonzi abasoba mu 180,000 mu kulonda okw’okuberawo olunaku olwokuna.
Mungeri yeemu bbo ab’oludda oluvuganya gavumenti bagumbye e Luweero okuva olwaleero.
Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu agamba nti Nabukenya y’asobola era asaana okuwangula akalulu kano.
Wafula agamba bakugumba mu kifo kino okutuusa nga akalulu akasembayo kabaliddwa okulangirira omuwanguzi.