Amawulire

Ebyobufuzi byebisse NAADS

Ali Mivule

May 28th, 2014

No comments

bANANAS

Eky’enkola ya NAADS obutavaamu bibala bigisuubirwaamu kissiddwa ku by’obufuzi ebigibaddemu

Olunaku lwajjo pulezidenti museveni yalagidde nti enteekateeka eno esazibweemu kubanga teyambye bantu kwejja mu bwavu.

Omubaka wa municipaali ye Rukungiri  Roland Mugume agamba nti enteekateeka eno tebadde mbi wabula ng’ejuddemu eby’obufuzi kale nga teyinza kuyamba bantu.

Mugume era agamba nti gavumenti essira yandibadde erissa ku kutuukirira balimu bonna mu kifo ky’okulondobamua bamu