Amawulire
Abalamazi okuva e South Sudan batuuse
Ekibinja ky’abalamazi 50 okuva mu ggwanga lya South Sudan batuuse ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo nga betegekera okukuza olunaku lw’abajulizi wiiki ejja.
Akulira ekiggwa kino father Joseph Mukasa Muwonge yayanirizza abalamazi bano nga banaabwe nabo bali mu kubo.
Father Muwonge agamba bano bagasse ku banaabwe okuva e Rwanda, Tanzania ne Kenya abetegekera nga 3 June okukuza olunaku lw’abajulizi.