Amawulire
Eby’obufuzi mu palamenti- Kadaga
Sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga atadde akaka ku byobufuzi mu palamenti
Bw’abadde ayogerera mu Lukiiko lw’abababaka ba palamenti okuva mu mawanga agali mu lubu olumu ne Bungereza, Kadaga agambye nti ababaka basanze obuzibu bwamaanyi okukola emirimu gyaabwe kubanga bakubwa ku nsolobotto
Kadaga agamba nti kino kirese ababaka abamu nga basirifu ku nsonga eziruma abantu mu kifo ky’okwogera n’edoboozi ly’omwanguka
Ono era agamba nti naye kenyini oluusi bamuyingirira ng’akola ebibye kyokka nga tebamuyigula ttama
Ebigambo bya Kadaga bikakasizza ebyafulumira mu alipoota eyakolebwa gyebuddeko ng’ekyoleeka ng’ababaka bwebakulembeza ebibiina mwebava mu kifo ky’nsonga z’eggwanga