Skip to content Skip to footer

Uganda ssiyakuva Somalia kati

UPDF chopper

Amaggye ga Uganda ssigakuva mu ggwanga lya Somalia okutuusa ng’abatujju ba Alshabaab baweddeyo.

Minista akola ku nsonga z’eby’okwerinda , Dr Crispus Kiyonga bino y’abyogedde bw’abadde awayaamu ne bannamawulire

Kiyonga era awakanyizza ebigambibwa nti abatujju babaliisa akakanja ng’agamba nti beebakaabya abatujju bano

Atangazizza nti era mu bulumbaganyi obwakolebwa abatujju bano ku palamenti teri wa maggye ga Uganda yattibwa

Leave a comment

0.0/5