Amawulire
Eyazaalibwa n’amagulu ataano yeetaga obukadde nkaaga
Abasawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago bakyagenda maaso n’okwekebejja omwana eyazalibwa nga alina amagulu ataano.
Omu ku basawo omukugu mu kulongoosa Dokita John Ssekabira agamba tebanazuula kiki ddala ekyaviirako omwana ono okubeera bwati wabula nga akyali mu mbeera nungi.
Bbo bazadde b’omwana ono basaba buyambi obw’omwana wabwe ono n’abalala 4 bebaleka mu kyalo.
Omwana ono yazalibwa Awine Margret ne Boniface Okongo abatuuze be Nayingo mu disitulikiti ye Bugiri nga okulongosa omwana ono kwakumalawo obukadde 60.