Amawulire

Namungi w’omuntu yeeyiye e Namugongo

Ali Mivule

June 3rd, 2014

No comments

Namugongo anglican shrine

Olwaleero lunaku lwabajulizi.

Wowulirira bino nga Namugongo awuuma olwa namungi w’omuntu eyekulungudde okuva ebule n’ebweya okweyiwa ku biggwa by’abajulizi okujjukira  abajulizi abaafiiririra ediini yaabwe ey’ekikulisitu.

Okusaba kutandise ku biggwa byombi nga mu bakatolika, okusaba kukulembeddwaamu akulira essaza ekkulu erya kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga ate mu ba kulistaayo, Ssabasumba Stanley Ntagali y’akulembeddwa.

Aba Kotido beebakulembeddemu okusaba kuno ku kiggwa ky’abakatolika

Eby’okwerinda kasiggu nga poliisi eringa buwuka ate nga bwegudda ku byobusuubuzi , tebinnatereera bulungi, abantu abagula batono kubanga eby’okulya ku luno tebyakkiriziddwa mu kiggwa.

Buli nakku z’omwezi ssatu omwezi ogw’omukaaga, abakirisitu bajjulira abajulizi abattibwa olw’eddiini yaabwe.