Amawulire
Namugongo;Ssabasajja kabaka ku nguzi, Museveni ku bumu
Ssabasajja Kabaka wa Buganda abakkiriza abawadde amagezi okwewala ebikolwa eby’efujjo kko n’okulya enguzi mu kaseera kano nga tusemberera okulonda kwa 2016.
Amagezi gano gabadde mu bubaka bw’omutanda eri abakkiriza abakungaanidde ku biggwa by’abajulizi e Namugongo
Obubaka buno bwetikkiddwa Kaggo Tofiri Kivumbi Malokweza.
Ssabasajja agambye nti ebizibu byonna ebikosa omuntu wa bulijjo bisobola okumalibwaawo ssinga enguzi eggwaawo kyokka nga ne Katonda abantu bamwekutte
Yye pulezidenti Museveni agamba nti abajulizi bayambye nnyo mu kugatta abafirika kale basaanye okutwalibwa ng’ekikulu.
Ng’ayogerako eri abakkirizza pulezidenti agambye nti abajulizi basomboola abantu okuva ebule n’ebweeya era nga kino Uganda erina okukyeyagaliramu.
Ono era akunze abantu okukwatizaako Eklezia mu kukulakulanya ekiggwa kubanga kati kiri ku mutindo gwa nsi yonna.
Yye ssabasumba w’essaza ekkulu erya kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga awanjagidde ab’akabinja ka Bokoharam okuyimbula abawala abasoba mu 200 abakwatibwa mu Nigeria.
Ssabasumba era asaasidde ab’enganda z’omulamazi eyafudde ng’atambula okuva e Lira.
Ssabasumba abadde ku kiggwa kya bakatolika ate nga ku kiggwa ng’abakulistaayo Ssabasumba Stanley Ntagali asabye abakkiriza okuwaayo eri mulimu gw’okuzimba ekifo ky’ebyafaayo ku bajulizi abattibwa n’ab’omulembe ogujja basobole okubasomako.
Okuzimba ekifo kino kwatongozeddwa ssabbiiti ewedde era ng’omulimu gusuubirwa okuggwa mu myaka 2.