Amawulire

Abasoba mu 60 batubiridde e Namugongo

Ali Mivule

June 4th, 2014

No comments

NAMUGONGO FULL 2

Nga wakayita olunaku lumu lwokka nga ebijaguzo by’abajulizi byakaggwa wali ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo, abantu abasoba mu 60 bakyakonkomalidde ku kiggwa.

Abamu ezibazza ewaabwe tebaziraba nga ate abalala  ab’enganda zaabwe baababuzeeko.

Omu ku bano abuuliddwako omwana gw’agamba nti ye Joan nga waliwo n’omukadde aatalabikako.

Ate ku kiggwa ky’abajulizi ekyabakulisitaayo, abantu abamu balabiddwako nga balinda baasi okubazza ewaka.

Ku makya galeero waliwo omuwala ategerekese nga Joan Namutebi abbiddwako ssente za fiizi zaabadde agenda okusasulira baganda be mu banka.

Aduumira poliisi ya Kiira Division a Peter Nkulega agamba bakugenda maaso n’okugumba ku kiggwa kino okutuusa nga omuntu asembayo azze ewaka.

Agamba nti yadde nga wabaddewo ebizibu ebitebereka ebitonotono, embeera ebadde yabukkakkamu bukyanga balamazi batandika kweyiwa ku kiggwa.